Amawulire

Omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

noah sserunjogi

Poliisi ku kyalo  Kyabi mu disitulikiti ye Ssembabule ekutte omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe.

Omupakasi ono wa myaka  30 era  asobezza ku wa myaka 10.

Kigambibwa nti ssedduvuutu ono y’alabiriza bazadde b’omwana nga  tebaliiwo n’amweganzikako.

Bazadde b’omwana ono okulabuka basoose kulaba mwanawaabwe nga alumizibwa bw’aba atambula  kwekumubuuza ogwabadde n’akabatema nti omupakasi yamutunuza mu mbuga ya sitani.

Kino kyajje abazadde mu mbeera nebekubira omulanga ku poliisi eyasitukiddemu n’ekwata omupakasi ono.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoj ategezezza nga ono  bwagenda okutwalibwa akeberebwe siriimu balabe oba omwana teyasigiddwa kirwadde kino.