Amawulire

Omupoliisi attiddwa mu bubbi

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Nabakooba again

Poliisi ekakasizza okuttibwa kwa musajja waayo mu bubbi

Dan Kato attiddwa abantu abakaaye obugo oluvanyuma lw’okumusanga ng’amaze okutta omusajja gw’abadde agezaako okubbako emmotoka.

Kato ono ne munne atolose bapangisizza omusajja ono abadde avuga mmotoka kika kya Noah kyokka nga bwebatuuse mu kkubo nebamusiba omuguwa mu bulago  mu kumutuga.

Mu kwerwanako, emmotoka evudde ku kkubo n’egwa kyokka nga wabaddewo ababadde bava emabega w’emmotoka eno mu baasi kwekuvaamu nebakwata Kato nebamukuba emiggo egimusse

Owmogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Judith Nabakooba akakasizza amawulire gano wabula n’ategeeza nga Kato bw’abadde yagobwa mu poliisi.

Omusajja ono yoomu abadde yayimbuddwa olunaku lwajjo  oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona ng’alya enguzi okuva ku mugoba w’emmotoka.