Amawulire
Omusaala ogusookerwaako guliwa
Abakozi bawadde gavumenti okutuuka ku nkomerero y’omwezi guno okussaawo akakiiko akanakola ku nsonga z’omusaala ogusokerwaako.
Uganda yakoma okussaawo omusaala gwa shs 6000 ogusokerwaako mu mwaka gwa 1984 nga kati abalwanirira eddembe bagaala gutuuke mu mitwalo 25
Akulira omukago gwa NOTU Usher Wilson Owere agamba nti minisitule ekola ku nsonga z’abakozi yandibadde yatandika dda ku ddimu lino kyokka nga ssi bweguli
Owere agamba nti ekyennaku nti byonna ebyetaagisa babikoze naye nga gavumenti teyenyeenya