Amawulire
Omusajja akubye nazaala lw’abaana
Bya Abubaker Kirunda
Omusajja akakanye ku nazaala we, namukuba ebikonde ngamulanga okuganira abaana be, obutabamuddiza.
Bino bibadde mu disitulikiti ye Bugiri, Erina Nsaba omutuuze we Nakivamba mu gombolola ye Nabukalu, ngaubye maama amuzaliira abaana, ebikonde 3.
Kitegezeddwa nti ono yayawukana ne mukyala we, omwezi oguwedde, era babadde mu lutalo ngabanja abaana.
Ssentebbe wekyalo Franco Nalemo agambye nti omusajja era abadde alumiriza nazaala okupika mukazi we, okunoba.
Agambye nti omusajja yasinzizze nazaala nabatuuze amaanyi, natwala abaana.
Kati ebakanye nomuyiggo ku musajja ono.