Amawulire

Omusajja awalampye ekizimbe neyekasuka wansi naafa mu ddwaliro e Mulago

Omusajja awalampye ekizimbe neyekasuka wansi naafa mu ddwaliro e Mulago

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi e Wandegeya etandise okunoonyereza ku kibagudde omusajja omutuuze w’e Kyebando, mu Kampala ogugenda yettire e Mulago mu ddwaliro.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya kampala ne miriraano, Luke Owoyesigyire agamba nti omugenzi ye Joseph Waswa ngono teyabadde mulwadde mu ddwaaliro e Mulago wabula yagingidde eddwaliro nawalampa ekizimbe kya kalian ku mwaliro ogwokutaano ne yekasuka wansi naafa.

Agamba nti ye famire etegeezeddwa nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.