Amawulire
Omusajja eyali yabula asangibwa nga mufu
Bya Malik Fahad,
Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera etandise okunoonyereza ku mbeera omusajja eyabula gye yasangiddwa ng’afiiridde mu maka g’owooluganda lwe.
Omugenzi ategerekese nga Vincent Bugembe omutuuze ku kyalo Kalongo ekisangibwa e Kalisizo mu disitulikiti y’e Kyotera.
Okusinziira ku bantu b’omu kitundu yasemba okulabibwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde bwe yali yeetegekera okugenda mu kabuga okusumbula ebintu
Abatuuze bagamba nti Bugembe yandiba nga yetta okuva lwe baazudde ebbakuli y’eddagala ly’ebirime mu kifo we yafiira.
Ssentebe w’ekyalo kino Joseph Kizito agamba nti yafuna amawulire okuva mu batuuze ku kubula kw’omugenzi ne bakubira poliisi essimu eyayanukudde n’esala ekufulu ku nnyumba mw’abadde asula ne bamusanga ng’afudde.
Kigambibwa nti yalidde emmere mweyatabudde eddagala lyébirime
Aduumira poliisi y’e Kalisizo Emanuel Tumukunde agamba nti okunoonyereza kwa poliisi ku nsonga eno kutandise.