Amawulire
Omusajja gwa Typhoid gutuuse e Maracha
Omusujja gwa Typhoid gwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebirala.
Abantu nga 311 bateberezebwa okubeera n’omusujja guno mu disitulikiti ye Maracha .
Akulira okulambula eby’obulamu mu disitulikiti eno Rasul Jurua agamba omusujja gubakutte mu myezi 3 egiyise nga era batandise okwekenenya abatunzi b’emmere mu kutundu kino.
Ye akulira abakozi mu disitulikiti eno Francis Opolot, wano w’asabidde amaka gonna okusima kabuyonjo okukendeeza ku mazzi amajama gebanywa.