Amawulire
Omusajja yekumyeko omuliro naafa
Bya Ndhaye Moses
Abatuuze b’eKitende baaguddemu ekyekango akawungeezi ke’ggulo, omusajja atategerekese bweyekumyeko omuliro naafa.
Ono kigambibwa nti yakozesezza amafuta ga petulooli, nga kigambibwa nti yasoose kuganywa.
Okusinziira ku berabiddeko ono yazze ngadduka ku kkubo, ngatutuntumuka nagwa wabulanga kyabadde kizbu okumutaasa.
Ono tekyategerekese kiki ekyamujje mu mbeera okukola kino, wabulanga kisubirwa nti kusoberwa na bizibu ebireteddwa omuggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Poliisi yatuuse mu kifo kino nejjaawo omulambo, nebagutwala okugwekebejja mu kunonyereza okugenda mu maaso.