Amawulire
Omusango gwabavunanibwa mugwa Lokech gujulidde
Bya Ruth Anderah
Abantu 3 abavunanibwa emisango gyobutujju, nga kigambibwa nti bebaali batekateeka okubwatula bbomu mu kuziika eyali amyuka Ssabapoliisi wegwanga Paul Loketch mu disitulikiti ye Pader, balabiseeko mu kooti oluvanyuma nebabazaayo ku alimanda mu kkomera lye Kitalya.
Bano babadde mu maaso gomulamuzi wedaala erisooka ku kooti ya Buganda Road Asuman Muhumuza abazizaayo ku alimanda, oluvanyuma lwomuwaabi wa gavumenti Peter Mugisha okutegeeza ng’okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.
Kati omusango gwabwe gulijidde mwaka gujja, baakudda mu kooti mu January 2022 bamanye okunonyereza wekunaaba kutuuse.
Abavunaanwa kuliko Rashid Katumba owamasanyalaze era omutuuze we Masajja Kibiri mu Makindye, Najim Luyenjje owa Mobile Money owe Kijabwemi-Masaka ne Arafat Kiyemba omwokyi wa welding e Mengo-Kisenyi mu Kampala.
Bano baavunanibwa emisango 3 egyobutujju, okubeera nebyokulwanyisa ebyobulabe era ebikozesebwa mu kukola bbomu nebibwatuka, okubeera ba memba babatujju era abayekera aba ADF.
Oludda oluwaabi lugamba nti emisango baagizza wakati wa May ne August omwaka guno 2021.