Amawulire

Omusawo bamukubye bwebamuteeberezza okubeera omubbi

Omusawo bamukubye bwebamuteeberezza okubeera omubbi

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Omusawo wa gavumenti ow’ebisolo mu ggombolola y’e Maddu mu district y’e Gomba asimattuse okuttibwa abatuuze bwebamuteeberezza okubeera omubbi.

Henry Kafuluma abadde atambulira mu motoka ye eya buyonjo kika kya Mark II, mu kiro ekikeesezza olwaleero, nga kigambibwa nti otulo tumukutte bwabadde ajja e Kampala, kwekusalawo aparkinge ebbali asooke awummuleko.

Wabula abatuuze e Ngomanene olumulabye, bamwekngedde nebamuggya mu mmotoka ye nebamukuba mizibu nga bagamba nti alabika yoomu ku babbi, ababbko pikipiki n’ente zaabwe.

Wabula bategedde luvannyuma nti gwebabadde bakuba Musawo wabisolo omu ku batuuze bw’amumulisizzaamu ttooci nga amumanyi bulungi.

Mu kiseera kino ajjanjabibwa mu ddwaliro e Kanoni wabula ng’atusiddwako ebiwundu ebyamaanyi.