Amawulire
Omusawo eyajjamu omukazi olubuto atuyaana
Ssabawaabi wa gavumenti alagidde nti omusawo eyajjamu omukyala olubuto amale amutte avunaanibwe.
Kino kibaddewo yadde bannamateeka b’omusawo ono Dr Moses Muhwezi bafubye okuwakanya eky’okuvunaana omuntu waabwe
Dr. Muhwezi emisango yagizza kati emyezi mukaaga emabega.
Ab’enganda z’omugenzi nno nabo babadde tebagaala musawo ono avunaanibwe kyokka nga ssabawaabi wa gavumenti bino abiwakanyizza
Muhwezi nga ye nanyini kalwaliro ka Memory akasangibwa e Mulago yeeyali akola ku mukyala Mercy Ampaire eyafa ng’ajjamu olubuto
Kati omulamuzi ali mu musango guno Lillian Bucyana agwongezezzaayo okutuuka nga 12 November okuwulira lwekunatandika