Amawulire

Omusolo ku mafuta guzzeewo

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

fuel pump

Palamenti ezizzaawo omusolo gwa shs 200 ku buli liita y’amafuta g’ettaala

Kino kiddiridde pulezidenti Museveni okugoba ebyasooka okusalibwaawo nti omusolo guno guveewo  ng’agamba nti gavumenti eyagala kutumbula kukozesa masanyalaze ga njuba mu kifo ky’amafuta

Omu ku babaka ku kakiiko kano Henry Musaasizi anyonyodde nti basazeewo okuzzaawo omusolo guno gwebaali bagoba okusobola okukungaanya obuwumbi 68 ez’okugula sola

Mu kukubaganya ebirowoozo kun songa eno, ababaka beeyawuddemu yadde nga mu kusooka bakwatagana nti omusolo ku mafuta tegwetaagisa

Abamu ku bawagidde okuzzaawo omusolo guno kwekuli Janet Museveni, George Ecuma, Florence Mutyabule ne Fred Ebil.

Bbo ababaka abalala okuli  Theodore Ssekikubo, Patrick Amuriat ne Haruna Kasolo bawakanyizza omusolo guno

Kati kitegeeza nti n’omusolo ku nsimbi z’okutereka n’okujjayo ensimbi zizzeewo

N’omusolo gwa shs 50 guzzeewo ku buli kilo ya sukaali.

Bino byonna byaali mu mbalirira y’ensimbi

Abakyala wansi w’ekibiina kyaabwe ekya FOWODE beebadde basinze okuwakanya omusolo guno nga bagamba gwakukosa bangi naddala mu byaalo

Omukulu mu kibiina kino Sophie Kyagulanyi agamba nti pulezidenti Museveni alina okunyonyola lwaki ayagala okwongera omusolo ku mafuta naye nga bbo bakusigala nga bakisimbira ekkuuli.