Amawulire
Omusolo ku masomero- Fiizi zakwongezebwa
Bannanyini masomero balayidde nga nabo bwebagenda okwongeza ebisale by’essomero ssinga babinikibwa emisolo
Ng’asoma embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja, minister ekola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka yalangirira nga bwebaali bataddewo omusolo ku masomero g’obwannanyini n’abo abagaala okugatandika bakusasulanga emisolo.
Wabula ssentebe wa bannanyini masomero g’obwannyini, John Bosco Mujumba agamba nti bakyayogereza gavumenti naye nga ssinga tewabaawo kukkakkanya, tewali kubuusabuusa bakwongeza ebisale.
Mujumba agamba nti ebyenjigiriza kuba kuwereeza bantu sso ssi bizinensi kyokka nga gavumenti okubabinika omusolo yalangiridde nti Katie fuse bizinensi.
Wabula bano nga bakawera, ate minister Kiwanuka azzeemu azzeemu okutangaaza nti ensimbi zino zigenda kussibwa ku magoba agakolebwa amasomero.
Kiwanuka agamba nti era amasomero agatakola magoba nga gaweereza bantu ssigakujjibwaako musolo guno.