Amawulire
Omusomesa akubiddwa amasasi agamusse e Bushenyi
Bya Nalwooga Juliet,
Poliisi mu Disitulikiti y’e Bushenyi eriko abakuumi babiri abeegattira mu kitongole kya Ruhama Veterans Uganda Ltd, bekutte ku misango gy’okukuba omusomesa wa pulayimale amasasi agamugye mu budde.
Marcial Tumusiime, omwogezi wa poliisi mu greater Bushenyi ategeezezza nti omulambo gw’omugenzi gwasangiddwa nga gugalamidde ku ssundiro ly’amafuta nga nengoye ziyurise ekiraga nti wabaddewo okusika omuguwa nga tebannaba kumukuba masasi.
Abateeberezebwa okutta omusomesa ono kuliko Darius Ashaba-Aheebwa 28 ne Brian Mugarura 23 nga mu kiseera kino basibiddwa ku Poliisi y’e Ishaka ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Joseph Nuwamanya 58, maneja mu kkampuni eno ey’ebyokwerinda yaloopa ensonga eno ku poliisi ng’agamba nti omugenzi yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo oluvannyuma lw’okuyomba n’abakuumi.
Poliisi yagenze mu kifo kino, n’ezuula emmundu ya AK-47 eteberezebwa okukozesebwa mu kutta omusomesa ono