Amawulire
Omusomesa eyasobya ku w’emyaka 8 akwatiddwa
Bya Juliet Nalwoga, Poliisi wano mu Kampala eriko omusomesa ku somero lya Springfield international school gw’ekutte ku bigambibwa nti yekakatika ku mwana ow’emyaka 8.
Omusomesa agambibwa okw’ekakatika ku mwana wa myaka 29 nga kigambibwa nga yamusanga mu kiyigo namutunuza mu mbuga za sitaani ekyavirako omwana ono okuvunda ebitundu bye ebyekyama
Ssekamwa wa police Fred Enanga ategezza nti n’omukulu w’essomero yakwatidwa olw’okulagajalira amawulire gano
Enanga asabye abazaffe okuba abegenderezza eri abaana babwe.