Amawulire
Omusomesa Omulala Asiyaze Omuyizi
Poliisi e Jinja ekutte omusomesa omulala ow’emyaka 26 lwakusiyaga muyizi we ow’emyaka 14.
Akulira poliisi ye Bugembe,Patrick Nuwagaba agamba nti akavubuka kano yakalimbidde ku nviiri bweyakatutte ewa kinyoozi nebakasalako enviiri.
Bwebavudde wano n’akagulira empale empya wano n’akatwaala ewuwe.
Wabula akaana kano kakubye enduulu eyasombodde abantu abayise poliisi n’ekwata omusajja ono.
Kino okubaawo nga wakayita wiiki mbale ng’omusomesa omulala mu ditulikiti eno yakakola ekivve ky’ekimu ku muyizi ow’emyaka 9.