Amawulire
Omusubuzi bamubbye
Bya Magembe Sabiiti
Poliisi e Mubende eri ku muyiggo gwabazigu be mundu, abayingiridde omusubuzi Gahungu Patrick akola eky’okunywa kya NEEZA ENERGY DRINK nebamubako ensimbi akakadde 1 n’ekitundu n’okumutuusako obuvune.
Ono atubulidde ngabazigu bano bwebawambye omukuumi mu amaka ge, agasangibwa ku kyalo Kasenyi mu West division mu munispaali ye Mubende nemujako emundu gyebakozesezza okubba.
Yye akulira ye Mubende Ssekalema Hassan atubulidde ngobubbi buno bwebubaddewo ku saawa 10 mu kiro ekikesezza leero.