Amawulire

Omusujja gwénsiri gweyongedde mu ggwanga

Omusujja gwénsiri gweyongedde mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu ebisookerwako, Margaret Muhanga akakasizza okulinnya kw’abalwadde b’omusujja mu disitulikiti musanvu mu East Uganda.

Zino kuliko; Disitulikiti y’e Budaka, Butaleja, Busia, Butebo, Kibuku, Palisa ne Tororo.

Bino Muhanga abyogedde ayanukula okwemulugunya okwaleeteddwa omubaka wa Bunyole West mu disitulikiti y’e Butaleja Eric Mutiwa, ku bikwata ku balwadde b’omusujja okweyongera mu disitulikiti y’e Butaleja ate nga gavumenti tekoze kimala kugulwanyisa ekiviriddeko abantu nokusingira ddala abaana okufa.

Wabula Muhanga agamba nti ekitongole kya National Medical Stores kitandise okugabira abantu mu disitulikiti ezikoseddwa ennyo obutimba bw’ensiri.