Amawulire

omusumba ali mu kattu ku by’okusobya ku atanetuuka

Ali Mivule

December 16th, 2014

No comments

 

E Masaka waliwo omupaatiri alumirizibwa okusobya ku muwala atanetuuka n’amufunyisa  olubuto ate n’alwegaana.

Omuwala ono ow’okukyaalo  Kasaali  yawaabye dda eri omubaka wa pulezidenti e Masaka nga alumiriza omupatiri ono okumuttikka eramugema eby’okusoma n’abivaako ate n’amala n’amwegaana.

Omukyaala ono kati omukulu agamba omupaatiri ono ekyewunyisa y’agaana okulabirira mutabaniwe kati ow’emyaka 13 nga ete yamukaka akaboozi.

Kati omubaka wa pulezidenti  Ngompek ategezezza nga bwagenda okwogeregeranya n’abakulira ekigo ky’e Bukomansimbi ewatuula omupaatiri ono okulaba eky’okukola.