Amawulire
Omutuuze afiridde mu kidiba
Bya Malikh Fahad
ntiisa ebutikidde abatuuze abatuuze ku kyalo Kyazanga mu district ye Lwengo omusajja owemyaka 25 bwafiridde mu mugga.
Omugenzi ye Ivan Ninsima ngabadde mutuuze ku kyalo Nakalinzi mu gombolola ye Kyazanga e Lwengo.
Okusinziira ku abadde mukama we Stanley Kabesingaki, Ninsima omugemnzi baasembye okumulaba aawungeezi akayise nga kibewunyisizza okumusanga mu kidiba nga mufu.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Paul Kangave akakasizza bino, nagamba nti bagenda kukwatagana nabakulembeze okujjayo omulambo guno.