Amawulire

Omutuuze bamuletedde ssanduuko

Omutuuze bamuletedde ssanduuko

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze ku kyalo Kigunga mu munisipaali ye Mukono baguddemu entiisa, abantu abatanaba kutegerekeka bwebaleese omusaayi omuyitiriivu, omusalaba n’ekintu ekyefananyiriza ssanduko yabaafu nga kuwandikiddwako ebigambo ebigamba nti ‘Death on Time’, oba okufa akutuuse nebabisuula ku makka ga mutuuze munabwe.

Omusaayi guno gwayiriddwa ku makka ga Denis Mbabazi akolanga akulira abakuumi ku kampuni ya Biyinziika ettabi erye Kigunga Mukono.

Abakeera okukola bebalabye omusaayi guno nebakubakuba ku banaabwe.

Police okuva e Seeta yazze nejjawo ebintu bino, nebitwalibwa okwekebejjebwa.