Amawulire

Omutwe omukulu mu kuttibwa kwa Sentebe akwatiddwa

Ali Mivule

February 11th, 2015

No comments

Army car

Amaggye galiko gwegakutte ateberezebwa okubeera  omutwe omukulu mu kuttibwa kwa ssentebe wa LC3 mu disitulikiti ye Namayingo David Tito Okware.

Okware y’akubibwa amasasi mu makage e Namayingo abasajja 3 abatanategerekeka nga baali batambulira ku pikipiki etaaliko namba.

Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokusatu Capt Dennis Omara agamba  Musa Mucho akwatiddwa e Mbale nga agezaako okusala okudda mu disitulikiti ye Sironko.

Capt. Omara agamba omukwate y’akkirizza dda okukolaganira wamu ne poliisi mu kunonyereza kwonna okusobola okukwata abalala abateberezebwa okwetaba mu butemu buno.

Okuttibwa kwa ssentebe ono kwavuddeko okuwumuzibwa kw’abakulu ba poliisi mu bitundu by’e Busoga ku biragiro bya ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kaihura lwakulemererwa kukuuma butebenkevu mu kitundu.