Amawulire

Omuwala ayakakibwa omukwanoe kirindi asiibuddwa

Ali Mivule

March 12th, 2014

No comments

Zainabu

Omuwala Zainabu Mbabazi eyakakakibwa omukwano ekirindi abasajja enzaalwa ye pakistan asiibuddwa okuva mu mikono gya Actionaid ng’ali mu mbeera nnungi.

Ono alabise nga yalina wamuluma ategeezezza nga kati bw’awulira obulungi ng’era mwetegefu okutandika obulamu obulungi.

Yeebazizza aba cationa aid ne FIDA uganda olw’okumununula okuva e Magombe.

Omukungu mu action aid,Harriet Gimbo agambye nti abantu abakolebwaako ebivve olw’ekikula kyaabwe mingi ddala nga mu mwaka gwa 2012 gwokka,abantu abasoba mu mutwalo beebakosebwa

Ono wabula asabye gavumenti okukwasizaako ebibiina byobwa nnakyewa n’ekitongole ekiramuzi okukola amangu ku misango gyababawaaba.

bw’abuuziddwa ku by’okwerinda by’omuwala ono, ono ategeezezza nga bwebakakasa nti wakukuumibw abulungi era n’asaba aba famile ye okumuwa obukuumi obusooka

Omuwala ono era bamutandikiddewo ne bizinensi egenda okuyamba okweyimirizaawo