Amawulire

Omuwala yetuze naleka ebujje lya wiiki emu

Omuwala yetuze naleka ebujje lya wiiki emu

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Entiisa ebutikidde abatuuze mu disitulikiti ye Kaliro, omukazi bwasuddewo omwana we omuwere owa wiiki 1 nagenda neyetuga.

Omugenzi ye Rehema Nangobi ngabadde mutuuze ku kyalo Muuli ekisangibwa mu gombolola ye Nansololo e Kaliro.

Ssentebbe wekyalo kino Wilson Ngobi akakasizza okufa kwomutuuze we ono, ngabadde atemera mu myaka 22.

Ssentebbe agambye nti basanze omulambo gwe nga gulengejjera ku muti, poliisi eytiddwa nebagujjayo era basubizza nti okunonyereza kutandise.