Amawulire

Omuwendo Gw’ababundabunda Gulinye

Ali Mivule

June 20th, 2014

No comments

refugees

Ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku banoonyi b’obubudamu kyenyamidde olw’omuwendo gwababundabunda okuva munda mu ggwanga lya South Sudan okweyongera.

Amyuka omukiise w’ekitongole kino wano mu ggwanga Esther Kiragu ategezezza nti yadde nga emirembe gyigenda gyidda mu ggwanga eryo, abantu banji baabulidde eggwanga lino okwesogga Uganda nga buli lunaku abasoba mu 150 besogga eggwanga.

Bino bijidde mu kiseera ky’okukuza olunaku lw’abanonyi b’obubudamu munsi yonna nga emikolo emikulu wano  gyikwatiddwa mu nkambi y’abanonyi b’obubudamu e  Kyangwale mu disitulikiti ye Hoima.