Amawulire
Omuwendo gwábawala abatanetuuka abafuna embuto gukyali waggulu
Bya Tom Angulin,
Alipoota empya eyakoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu mu ggwanga ekya National Population Council (NPC) eraga nti omuwendo gwa baana abawala abafuna embutto nga tebaneetuuka gukyali waggulu nyo mu ggwanga era gugenda kuyimiriza kaweefube wa gavt ow’okutuukiriza ebiruubirirwa by’enkulaakulana.
Uganda yassa omukono ku nteekateeka z’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ez’enkulaakulana nga zino ngerambika ebigendererwa ebirina okutukirizibwa wetunatukira mu mwaka gwa 2030.
Muno mulimu n’ebigendererwa numba 3 ne 5 ebigendereddwamu okulaba ng’obulamu obulungi bubeerawo eri abantu, n’okutumbula obwenkanya mu kikula ky’abantu.
Alipoota eraga nti kaweefube w’okutuukiriza ebiruubirirwa bino mu Uganda yandiba ekyewuunyo singa tewali kikolebwa kukendeeza ku muwendo gwa baana abawala abafuna embutto nga tebanetuuka.
Bwabadde afulumya alipoota eno Jotham Musingu, dayirekita wa National population kanso, agamba nti kino kiri bwekityo kubanga omugugu gw’ebyobulamu, gutera okweyongera ng’omuwendo gw’abaana abato abafuna embuto gweyongera.