Amawulire
Omuyizi akwatiddwa
Poliisi e Kalungu ekutte omuyizi w’emyaka 14 lwakuteekera kisulo omuliro
Pauline Asio owa siniya y’okubiri nga muyizi ku ssomero lya St Charles Lwanga Kasasa secondary school kigambiwa okuba nti yeeyakolezezza ekisulo ky’abayizi abawala ku lw’okubiri
Ekisulo ekyakutte mwemubadde musula abayizi ba S1, S2, S3 ne S5 era ng’ebintu bya bukadde byasanaawo mu muliro guno.
Okukwatibwa kw’omuyizi ono kuddiridde bayizi banne okwekengera by’abadde akola bukyanga muliro gukwata bintu byaabwe
Omwogezi wa poliisi eruuyi eyo Noah Serunjogi agamba nti omuwala ono bwebamukazizza ekkirizza nti yakikoze olwa banne ababadde bamuyeeya okubeera omubbi.