Amawulire
Omuyizi awanuse ku loole n’afiirawo
Waliwo omuyizi w’essomero ow’emyaka 16 e Lwemiyaga mu disitulikiti ya Sembabule awanuse ku kabangali n’agwa wansi n’afa.
Ivan Matovu abadde muyizi ku somero lya Lwemiyaga Secondary School abadde asoma siniya 2 afudde atuusibwa mu ddwaliro lye Ntusi.
Akabenje kano kagudde kumpi n’ekanisa yomu kitundu kabangali UAD 364K ebadde etutte ku muvubuka eno bwetomedde payipu y’amazze musajja wattu n’awanuka waggulu neyekata ennume y’ekigwo.
Taata w;omugenzi Joseph Kasita ategezezza nga mutabaniwe bw’agudde ku kabenje nga ava mu katale oluvanyuma lw’okutwalibwako aba kabangali.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah SSerunjoji akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga bwebatandise okuyigga dereeva wa kabangali eno.