Amawulire
Omuyizi yesse lwakugwa bigezo
Mu disitulikiti ye Lwengo Poliisi eri mu kunonyereza ku muyizi w’essomero ow’emyaka 10 eyeetuze nga atya bazadde be okumutta lwakudda mu kibiina.
Omwana ono abadde asoma kyakuna ku ssomero lya Bishop Ssenyonga Primary school, era nga olwategedde nti ebigezo abigudde,neyejja mu budde.
Okusinziira ku mwanyina w’omugenzi , omulenzi ono yamutegezezza nga bakaddebe bwebaabadde bagenda okumutta , era baagenze okumusanga nga alengejera ku mulabba gw’omukisenga .
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji wano w’alabulidde abazadde okukomya okukambuwalira abaana nga bagudde ebigezo kubanga kyekyaviiriddeko musaayi muto ono okwetta.