Amawulire

Omuzikiti gwa Spidika gumenyeddwa

Ali Mivule

December 27th, 2013

No comments

MOSQUE DEMOLISHED

Poliisi negyebuli kati ekyagumbye mu kisenyi awabadde omuzikiti gwa spidika ogukedde okumenyebwa.

Abayisiraamu mu bitundu by’omu Kisenyi bakeredde mu kiyongobero oluvanyuma lw’abampi n’abawanvu okuyiibwa ku muzikiti guno oguludde nga gukayaanirwa

Abakulira omuzikiti guno n’abagusaaliramu bakaayana n’omugagga John Bosco Muwonge eyafuna ekiragiro kya kkooti ekikkiriza nti omuzikiti guno gumenyebwe

Muwonge agamba nti abaali baddukanya omuzikiti guno beebagumuguza kyokka nebefuula ekyamuwaliriza okugenda mu kkooti.

Akulira poliisi mu kitundu kino Stephen Tanui agamba nti bayitiddwa kulaba nti tewabaawo buvuyo bwonna.

Bbo abayisiraamu ababadde basaalira mu muzikiti bangi balabiddwaako nga bagukungaaniddeko ng’abamu tebalobeddwa kwoza ku munye.

Bavumiridde ekya poliisi okukkiriza omuzikiti okumenyebwa ng’ensonga eno ekyatesebwaako.