Amawulire
Omwami wa Minisita Amelia Kyambadde bamuyimbudde
Bya Ruth Anderah
Omwami wa minister webyobusubuzi namakolero saako obwegassi Amelia Kyambadde ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gyabadde ku kiboberezo kya myezi .
Okusinziira ku mwogezi wamakomera, Wilson Kyambadde ayimbuddwa okuva mu kkomera olwaleero.
Kyambadde nga July 10, 2017 omumyuka womuwandiisi wa kooti Flavia Nassuna Matovu yamusindika mu nkomyo bweyalemererwa okusasula akakdde kamu, akamusabibwa ku misango gyokufera Amdah Khan.
Wabula bino tebinaggwa, ono ebibye byolekedde okutwalibwa.
ebizibu byomwami wa Amelia, byatandika nga kigambibwa nti yajingririra ebbaluwa eyali eraga nti yali evudde mu maka gobwa presidenti, ngagamba mbu President Yoweri Museveni yali amuwadde ennyumba okujiunda, byonna ebyali ebyobufere.