Amawulire
Omwana afiiridde mu Muliro e Luuka
Bya Abubaker Kirunda,
Poliisi mu distict ye Luuka etandise okunoonyereza ku kivuddeko omuliro oguvuddeko omwana ow’emyaka 4 okufa.
Bino bibadde ku industria zone, mu muluka gw’e Kiyunga, Luuka Town Council mu disitulikiti y’e Luuka ku kizimbe ky’ebyobusuubuzi eky’omusuubuzi ategerekeseeko erya Mugume Nicholas.
Micheal Kasadha omwogezi wa poliisi mu Busoga North agamba nti ku ssaawa nga mwenda mukyala wa Mugume yabadde ateekateeka emmere, era omu ku bakozi mu butanwa n’ayiwa petulooli mu sitoovu y’amanda.
Kigambibwa nti emmere yabadde etegekeddwa okumpi n’edduuka ly’amafuta ga dizelo
Ebintu ebyasaanyeewo kuliko; Mmotoka (Toyota Harrier), sipeeya wa pikipiki & obugaali, ebidomola bya mafuta n’ebirala.
Omulambo gw’omwana guzuuliddwa nga gwokeddwa nga tegumanyiddwa, okwekebejjebwa n’okubuuliriza okulala kugenda mu maaso.