Amawulire

Omwana agudde mu baafu y’amazzi n’afa

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

Woman washing

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okukyalo Kawuga mu kibuga Mukono omwana bw’agudde mu baafu y’amazzi n’afa.

Omugenzi ategerekese nga Liz Mukisa owemyezi 9 gyokka.

Maama w’omugenzi amanyiddwa nga Namutebi agambye nti omwana we amulese amutuuzizza wansi n’agenda ayanike engoye wabula omwana ono ayavudde okutuuka ku baafu.

Atwala eby’okwerinda mu kitundu kono Godfrey Mbalire anenyezza nyo abazadde naddala abakyala olw’okulagajjalira abaana baabwe.

Mbalire agambye nti abazadde bangi kati batuma abaana babwe abato ku maduuka ekintu ekiviiriddeko obubenje mu baana okweyongera.