Amawulire
Omwana asangiddwa nga mufu
Ku kyaalo Tekulu mu minicipaali ye Lira, waliwo omwana w’ekibiina ekisooka asangiddwa nga mufu wajjo
Omwana ono abadde yeebase mu kayumba okuliraana essundiro la Gapco kilomita nga 70 okuva ku nju yaabwe
Mwanyina w’omugenzi Monica Akao agambye nti mutabani we yavudde ewaka ssaawa nga emu eya kawungeezi n’agenda ku luguudo okugula pen era teyakomyeewo.
Omwana ono agambye nti yakomye okulaba ku mwanyina nga bayisiganya ng’adda ewaka ate yye agenda kugula bitabo.
Nyina w’omwana ono Betty Akello agambye nti mutabani we yabuze okuva ewaka akawungeezi kajjo kyokka kibaweddeko okusanga omwana ono nga mufu wajjo.