Amawulire

Omwana asirikkidde mu muliro

Ali Mivule

February 17th, 2015

No comments

fire guts house

Poliisi ye Kyotera mu disitulikiti ye  Rakai ekyanonyereza ku kyaviiriddeko omwana ow’emyezi 8 eyafiiridde mu muliro ogwakutte enyumba mweyabadde alekeddwa.

Omugenzi ategerekese nga  Viola Namaganda muwala w’omukyaaka ategerekeseeko erya  Shamimu.

Enyiisa eno y’abaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero nga era kiteberezebwa okuba nga omuliro gwavudde ku kasubbaawa akaalekeddwa nga kaaka nga era n’ebintu byabukadde byasaanyewo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji ategezezza nga poliisi enzinya mooto bweyatuuse ekikeerezi okutaasa omwana ono.

Wabula avumiridde omuze gw’abazadde okusibira abaana baabwe mu mayumba bokka nga kibeera kizibu okubataasa singa omuliro gukwata.