Amawulire
Omwana atomeddwa n’afiirawo
Waliwo omwana ow’emyaka 4 atomeddwa pikipiki n’afiirawo ku luguudo lwe Rakai.
Jimmy Lubega 4, nga abeera Kyotera mu tawuni kanso ye Rakai atomeddwa pikipiki eno UEF 954Y ebadde efuumuka obuweewo nga adda ewaka.
Taata w’omugenzi David Matovu ategezezza nga mutabaniwe bwatomeddwa nga ava ku dduuka okugula sukaali akawungezi akayise nga era amawulire gano gamukubye wala.
Aduumira poliisi y’ebidduka e Rakai District Stella Babisusa akabenje akatadde ku muvuzi wa pikipiki Achileo Muddu kuvugisa ekimama.
Ategezezza nga poliisi bweyakutte dda Muddu okuyambako mu kunonyereza.
Babisusa wabula alabudde abazadde obutatuma baana bokka ku maduuka nga basala enguudo kubanga baba bangu baakutomerwa n’okuwambibwa.
Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.