Amawulire

Omwana ayidde- bakadde be basobeddwa

Ali Mivule

February 3rd, 2014

No comments

gal burnt

Bakadde b’omwana omuwala wa myaka 12 basobeddwa eka ne mu kibira

Kiddiridde omwana waabwe okujja yenna kumpi kuggwaawo nga yeebase

Ekyewunyisa nti omwana ono ku mufaliso kweyabadde yeebase tekuliiko kiraga nti wabaddewo omuliro yadde amasuuka geyabadde yeebisse

Christine Komuhangi ali mu kibiina kya kutaano nga yenna aleenya ng’omuntu ayidde omuliro yenyini

Omwana ono agamba nti yabadde yebase agenda okudda engulu ng’awulira omuliro gumukutte era kwekukuba enduulu bakadde be nabamutwala mu ddwaliro.

Wabula bbo abasawo bagamba nti waliwo embeera ng’omuntu asobola bulungi nnyo okujja omubiri naye nga tegukutte birala