Amawulire

Omwana eyabbira-Abasomesa batuuyanye

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

baby in pool

Okuwulira omusango oguvunaanibwa abasomesa abagambibwa okulagajjalira mwana eyabbira mu kidiba ky’essomero kugenze mu maaso.

Akulira essomero lya Acorn International school erisangibwa e Bukoto Aleena Lalani olwaleero yanyonyodde engeri abasomesa gyebalagajjaliramu omwana ekyamuviirako okufa

Ategeezezza nti abasomesa okuli Deborah Akado ne Florence Awor beebali bakuuma abaana olunaku olwo ate nga Hussama Wagogo gwebavunaanibwa nabo yeeyali akuuma ekidiba giyite swimming pool

Agambye nti kikakata ku basomesa obutajja maaso ku baana ate nga n’avunaanyizibwa ku kidiba ssinga yaliwo, yandibadde ataasa omwana nga yakagwa mu mazzi

Omwana eyafa ye Sunshine Mitchell Baraza ow’emyaka 3 ng’ono bamusanga afiiridde mu kidiba ky’essomero e Bukoto.

Omwana ono owa Andrew ne Doreen Baraza yali yakatandika okusoma ku ssomero lino era nga lwaali lunaku lwa kusatu ng’asoma