Amawulire

Omwana eyafudde, Palamenti etudde, omwana aziikiddwa, Musisi akaabye

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Mournors

Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi akulukusizza amaziga ng’omukyala eyafiiriddwaako omwana, amulombojjera ebintu nga bwebyabadde.

Madina Namutebi abadde ne bba basisinkanye Musisi okufuna ebbaluwa omuli obweyamo nti KCCA yakubaliyirira n’okubonereza omuntu eyakoonye omwana waabwe

Bakadde b’omwana kati basazeewo nti bagende baziike nga bwebalindiridde ebinaava mu KCCA

Ensonga z’omwana z’omwana ono zongera kulanda nga zituuse ne mu palamenti.

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bassizza gavumenti ku nninga okunyonyola lwaki abasirikale ba KCCA batuntuza abantu.

Ekiteeso kino kireeteddwa omubaka akiikirira abantu Rubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi

Bino byonna okubaawo bazadde b’omwana nga bali wamu n’abatembeeyi mu kibuga basoose kugezaako kuyingira mu palamenti kyokka nga tebakkiriziddwa

Mu kavuvungano akabaddewo, abantu babiri bakwatiddwa ng’omu ategerekese nga Makolo Kavuma

Lukyamuzi ategeezezza nti yeeyayise abantu bano okubaawo ng’ensonga zaabwe ziteesebwaako n’okwongera okunyonyola eggwanga ekituufu ekyabaddewo.

Yye omubaka Moses Kasibante yemulugunyizza kun kola y’abasirikale ba KCCA b’agambye nti bawamba eby’okulya bya bantu ate ng’ebizibiti bino tebirabikako mu kkooti

Mu balala era abavumiridde ekikolwa kya KCCA mwemubadde n’eyaali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya agamba nti kino kibe kyakuyiga eri KCCA nti okukwata abantu ng’ensolo tekikola era kiyinza okuzaala ebizibu

Wakati mu bigambo bino, minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye yetonze ng’agamba nti gavumenti yakuvaayo n’ekiwandiiko mu butongole ssabbiiti ejja.

Ate okuddako e Masajja, abakungubazi obwedda bekulungula okugenda okulaba ku mwana Ryan Semaganda.

Muno mwemubadde ne loodimeeya w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nga bakadde b’omwana ono bwebasaanye okuguma kyokka balwane okulaba nti eyasse omwana waabwe abonerezebwa

Webuwungeredde ng’omwana ono tannaba kuziikibwa nga bakadde be balindiridde bbaluwa ya KCCA erimu obweyamo nti yakubaliyiridde.

Ebbaluwa eno bagikimye ku KCCA gyebali kati mu nteseganya ne KCCA

Bano bagamba nti kyebaagala bwenkanya kubanga era tebakyalina kyebataasa kubanga omwana yafudde.