Amawulire
Omwana eyattiddwa, Musisi yetonze
Bazadde b’omwana eyafootoddwa ku KCCA olunaku lwajjo bagaanye okuziika omwana okutuuka nga baliyiriddwa.
Bino babituseeko mu kafubo kebabaddemu ne KCCA ku ofiisi zaabwe mu kampala
Kati bategereganye nti omulambo guno guddizibwe e Mulago okutuusa nga batuuse ku kukkaanya
Olukiiko luno lwetabiddwaamu maama w’omwana Madina Namutebi ne Kitaawe w’omwana
Katemba yetobese mu nnaku ab’enganda z’omwana eyatomeddwa ku cityhall bw’ezize ebintu ebimuwereddwa KCCA.
KCCA yakutte mu nsawo n’ejjamu obukadde 2 , kilo za sukaali ataano n’omuceere, omunnyo kko ne liita za butto kkumi nebawa omukyala eyafiiriddwa omwana.
Madina Namutebi eyafiiriddwa omwana ategeezezza nga bino bwebibadde bitasobola kuzza mwana we era n’atindigga olugenda okutuuka ku KCCA n’abasuulirawo ebintu byaabwe n’omulambo
Wabula yadde KCCA esoose kubaggalira bweru emaze n’eggulawo nebayingira era nebesogga akafubo.
Oluvanyuma Musisi yetonze n’ategeeza nga bwebagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nti eyasse omwana ono avunanibwa