Amawulire
Omwana ow’emyaka 6 afiiridde mu kidiba
Abubaker Kirunda, Waliwo omwana ow’emyaka 6 asangiddwa nga yafiridde mu kidiba ky’amazzi, ku kyalo Nakawa mu gombolola y’e Buluguyi mu district y’e Bugiri.
Omugenzi ye Suzan Mukisa ng’abadde muzukulu wa Imelida Nangosha.
Kati jjajjawe agambye nti omwana yabula awaka okuva ku Bbalaza, wabula olwaleero basanze mulambo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akakasizza bino, eranga agambye nti omulambo bagututte mu gwanika mu ddwaliro e Bugiri, okwongera okwekebejebwa.