Amawulire

Omwana owemyezi 4 afiiridde mu muliro

Omwana owemyezi 4 afiiridde mu muliro

Ivan Ssenabulya

August 22nd, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi e Katwe mu kibuga Kampala eri mu kunoonyereza ku muliro ogwakutte Kyengeza Zooni Salama mugombolola ye Makindye ogwaviiriddeko omwana ow’emyezi ena okufa.

Kigambibwa nti olwaleero omuliro gukutte ennyumba y’omukazi eyategeerekeseeko erya Mama eyabadde agenze okugula emmere mu katale k’e Kyengeza n’aleka abaana be 2 emabega omulenzi ow’emyezi 4 n’omuwala ow’omwaka gumu.

Abatuuze basobodde okuzikiza omuliro ne baggyayo abaana ababiri kyokka ng’omu yafudde dda ate omulala, omuwala ow’emwaka ogumu yaddusiddwa mu ddwaaliro e Kiruddu ng’ali mu mbeera mbi.

Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu KMP, agamba nti omulambo gw’omwana eyafudde gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago nga nokunonyereza bwekugenda mu maaso ku kiki ekyavirideko omuliro guno.