Amawulire
Omwana w’okuluguudo asse munne
Bya Prosy Kisakye
Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza kungeri omwana wokuluguudo gyeyakakanye ku munne, nmufumitafumita namutta.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango atubuliidde nti Siraje Tenhywa ne Eid Lukoyi kigamabibwa bagenze ku dduuka lya betting e Makerere mu Kagugube zone gyebafunidde obutakanya, omu nafumita munne mu lubuto.
Onyango agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.