Amawulire

Omwoleso gwa Buganda ogwébyóbulimi nóbwegassi gutandika nkya

Omwoleso gwa Buganda ogwébyóbulimi nóbwegassi gutandika nkya

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda butongoza enteekateeka eyókukuza olunaku lwébyobulimi nóbwegassi egenda kukuzibwa mu gombolola ye Maanyi mu ssaza Busujju.

Olunaku luno luli ku mulamwa ogugamba nti obugagga buli mu bulimi nóbwegassi era obwakabaka buteeseteese omwoleso gwébyobulimi nóbwegassi okukuza olunaku luno ogutandika enkya nga 29 ne 30 omwezi guno.

Minister wébyobulimi nóbwegassi mu bwakabaka Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, bwabadde ayogerako eri abamawulire olwaleero ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, agambye nti enteekateeka yókukuza olunaku luno egenda kutambulira wamu nénteekateeka ya mwaanyi terimba Katikkiro mwagenda okulambula abalimi bémwaanyi mu ssaza Busujju.

Mungeri yeemu Owek Mayanja Nkalubo ayogedde ebimu bintu bye bagenda okusimbako ennyo essira mu mwoleso guno.