Amawulire

Ongwen egeda mu kkooti y’ensi yonna- Museveni

Ali Mivule

January 14th, 2015

No comments

Ongwen

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni  ategezezza nga omuyeekera  Ongwen eyewaddeyo bw’alina okusindikibwa mu kkooti y’ensi yonna avunanibwe .

Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru  Okello Oryem ategezezza nga pulezidenti Museveni bw’ayagala Ongwen amateeka gamulamule ku misango gyeyazza wano mu Uganda, e Congo ne mu Central African Republic.

Ategezezza nti yadde nga Uganda erina obusobozi bw’okuwozesa Ongwen, emisango gyeyazza gyali gisukka ensalo kale nga kkooti y’ensi yonna y’esaana okumulamula wabula nga asana n’asooka aletebwako wano mu ggwanga.

 

Kino kiddiridde  abakungu ba gavumenti ya Amerika okukwaasa  amagye ga UPDF ag’omukago gwa  Africa  Ongwen .

Omukolo gubadde  mu ggwanga lya Central African Republic  nga eno Ongwen  abayekera ba Seleka gyebamukwasiza aba Amerika oluvanyuma lw’okwewaayo.

Omwogezi w’ekitebe kya Amerika kuno  Daniel Travis akakasizza kino era n’atendereza nnyo enkolagana ennungi wakati wa gavumenti ya Amerika ne Uganda okulwanyisa abayeekera ba LRA.

Travis ategezezza nga ekituukiddwako bwekili ekikulu ennyo ku by’okwerinda by’ekitundu kino oluvanyuma lw’okukwata omu ku bayeekera ow’omutawaana.

Ategezezza nga buli omu bw’ayagala okulaba nga obwenkanya bufunibwa ku bantu abaddizibwako ebikolobero okuva eri omuyeekera ono.

Gyebuvuddeko  Omwogezi w’amagye g’eggwanga Lt.Col Paddy Ankunda y’ategezezza nga Ongwen bweyetaagibwa kkooti y’ensi yonna okusoyebwa kajiojijiji w’ebibuuzo ku ttemu ly’azze akola.