Amawulire

Ono abba bazungu abalambuzi

Ali Mivule

March 5th, 2014

No comments

gorilla

Poliisi ekola mu bifo by’obulamu ekutte omukyala abadde alimba abazungu ng’ayita mu kkmapuni y’ebicupuli.

Omukyala ono ategerekese nga Lucky Katebire, abadde alina ka kkampuni k’ayita nako mu nkwaawa olwo n’alimbira okwo abazungu

Ng’ayogerako eri bannamawulire, omukessi okuba mu poliisi eno, Patience Kembabazi agambye nti omukyala ono abadde n’emikutu egisoba mu etaano egikla mu mawanga agatali gamu

Agambye nti emisnago ena gyegyakawaabwa ku mukyala ono nga abadde yakabba doola ezisoba mu nkumi nnya mu bitaano.

Omukyala ono wakuvunaanibwa emisango gy’okufera abantu ng’ayita mu kkampuni y’ekikwangala.