Amawulire

Owa KCCA abadde abbanga abasubuzi avunaniddwa

Owa KCCA abadde abbanga abasubuzi avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omukozi wekitongole kya KCCA Badiru Kivumbi abaddenga ajja ssente kubasubuzi abamadduuka, e Kanyanya bamulumiriza mu maaso gomulamuzi mu kooti yekibuga etuula ku Hall.

Gladys Nakibirango ategezezza omulamuzi we ddala erisooka mu kooti eno, Valerian Tuhimbise nti yawa omusajja ono emitwalo 26 neka soda okumuwa layisinsi.

Wabula agambye nti kyamwewunyisa ate aba KCCA okujja nebamukwata, nga bamulumiriza okujingirira layisinsi, omuvunanwa gyeyali yamuwa.

Ono kigambibwa nti abaddenga afera abasubuzi nabajjako ssente, nabawa layisinsi enjingirire.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa omusango yaguzza nga 25 January 2019 e Kanyanya mu division ye Kawempe, ku njegotego zekibuga Kampala.