Amawulire
Owa mobile money awenjezebwa
Abubaker Kirunda, Poliisi mu district ye Mayuge ebakanye n’omuyiggo kuwa mobile money, agambibwa okubba kasitoma we ensimbi eziri mu kakadde kalamba.
Peter Sibili omutuuze ku kyalo Lwantale mu town council ye Bugade, kigambibwa nti yabbye akakadde kamu okuva ku Farida Nabirye.
Ono omukyala yamuwadde ensimbi azisindike wabula teyazisindise, namulimba era yagenz eokudda ngadduse.
Kati omudumizi wa poliisi mu district ye Mayuge Rogers Kapere akaksizza bino.
Agambye nti omuyiggo gugenda mu maaso, okuzuula waali abeeko byanyonyola poliisi.