Amawulire

Owa NRM ali mu maaso

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

NRM's JAne Frances  Amongin Okili in Early lead in the Amuru women MP byelection.photo by STEPHEN OKELLO

Ebyakava mu kubala obululu e Amuru biraga nti Munna NRM Jane Francus Amongin y’aleebya banne bwebali mu lwokaano

Mu gombola ye Atiak, Amongin afunye obululu 1,500 ate ow’abavuganya nga wa FDC Lucy Akello afunye obululu 1,036

Mu gombolola ye Lamogi, mu muluka gwe Jimo, Amongin afunye obululu 79, ate Akello afunye 85, e Parabongo, Amongin afunye obubonero 70, ate Akello afunye 80,

Ku muluka gwe Guru, Amongin afunye obululu 138 ate Akello afunye obululu 113,

Mu muluka gwe Otic, AMongin afunye obululu 46, ate Akello n’afuna obululu 96.

Mu Lamogi Amongin afunye , 329 ate Akello afunye 321.

Wetugyidde ku Mpewo ng’ebitundu ebirala tebinnafulumya bivudde mu kalulu.

Wabula mu gombolola ye Pacilo East, abadde akulembeddemu okulonda Simon Peter Okot, ayimiriziddwa okukola omulimu gwe kubanga abadde atamidde.

Omwogezi w’akakiiko akalondesa, Jotham Taremwa agamba nti omusajja ono bamukyusirizzaawo nga tannaba kudibaga bintu

Akalulu kano kuddamu okukubwa kiddiridde okulekkulira kwa Betty Bigombe eyafuna omulimu mu banka y’ensi yonna.