Amawulire
Owa NRM awandiisiddwa
Agava e Luweero leero abeesimbyewo 2 bamaze okusunsulwamu ku kifo ky’omubaka anakiikiriria Luweero mu palamenti.
Kuno kuliko munna NRM Rebecca Nalwanga n’eyesimbyewo ku bwanamunigina Farida Namubiru kko ne Brenda Nabukenya eyasunsuddwa gyo
Jotham Taremwa ayogererea akakiiko ke by’okulonda atubuulide enteekateeka zonna zigenda mu maaso , era nga abalala na buli kati abeesimbyewo bakyagenda mu maaso okukima foomu
Mungeri yeemu yyo police erabudde abawagizi b’abeesimbyewo okukomya okwefuula banaggwano nga bakyankalanya ekibuga
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba baayiye dda abasirikale mubuli kanyomero okusinga ku nguudo ez’ enkizo saako n’akatale mu kitundu kino.